AKABIRO: Mpologoma
OMUBALA (Slogan): Nnabbosa Mpaawo Alikuliisa Endiga
OBUTAKA (Clan Seat): Mbaale – Mawokota
OMUTAKA (Clan Head): Lwomwa Eria Lwasi Buzaabo
BAZADDE BA SAMWIRI KATAZA BALAGADDE (SKB)
Taata wa Samwiri Kataza Balagadde ye yali Mukasa Nkoobe Nakabaale Mikisesangwa Numujunga ate Maama we ye yali Ludiya Nakazzi Wangabira. Mukasa Nkoobe Namujunga agalamidde Membe mu Mawokota ate ye Ludiya Nakazzi Wangabira agalamidde Nakaseeta mu Bulemeezi.
Samwiri Kataza Balagadde yazaalibwa 1878 ku kaalo Membe mu Mawokota, Mpigi District era ye yali omwana omuggalanda owa Mukasa Nkoobe Nakabaale Mikisesangwa Namujunga.
.

ABAKYALA BA SKB
Bano be bakyala SKB be yawasa:-
-
-
- Elesi Kyobuula Nabasaale
- Ekoliya Nassiwa
- Elina Guttabangi Mabejjo
- Petralina Namazzi
- Miria Kayaga Naamala
-
SKB yazaala abaana 28 naye abasinga bafa bato. Abaana abalenzi 12 abakula n’abawala abamu be bakola “Empya” ezikola olunyiriri lwa Samwiri Kataza Balagadde.
OKUSOMA KWA SKB MU BUFUNZE
SKB yasomesebwa abazungu Abaminsani aba C.M.S (Church Missionary Society) abaali baleese eddini y’Ekikulisitaayo mu Buganda mu 1877 era bano be baamubatiza era ne bamugatta ne mukyala we eyasooka Elesi Kyobuula Nabasaale. Yasomera mu masomero nga;
- Namirembe C.M.S School
- Ndejje Junior School
- Mengo Junior school eno gye yasomera n’atuuka mu P.6.
.

EMIRIMU GYE MU BUFUNZE
Nga amazeeko P.6, yatandika okukola n’abazungu Abaminsani mu kubuulira enjiri y’Ekikulisitaayo era ye yali omuwandiisi, omutaputa n’okuba omuwabuzi (Personal Secretary) w’omuzungu Bishop John Willis eyali atuula e Namirembe. Ono yaliwo wakati w’emyaka 1912 – 1934.
Mu 1922 emirimu gy’okuba omuwandiisi w’omuzungu yagireka n’agenda e Kakute mu Bulemeezi, ng’ali e Kakute yafuna ettaka e Nakaseeta era eyo gye yaziika nnyina Ludiya Nakazzi Wangabira.
E Nakaseeta gye yava n’alya/n’afuuka ow’e Gombolola ya Musaale – Kalagaalo eyasooka era eyo Mukyala we Elesi Kyobuula gye yafunira erinnya erya “Nabasaale” kubanga ye yali omukyala eyali asoose okuba mukyala w’owe Gombolola ya Musaale – Kalangaalo.
E Kalangaalo gye yava n’asenga e Nabutitti – Bukuya mu Singo. SKB wamu ne bakyala be, n’abaana be abasinga obungi bagalamidde ku kiggya kye yakola e Nabutitti – Bukuya mu Singo kati y’eyitibwa “Kassanda District”.
Bikuweerezeddwa: Bbosa Robert Gwembuga Nsawoyavvu